Obutalabika oba Obutasiiga (U=U) Kitegeza kki?
Sayansi akakasiza nti omuntu yenna alina akawuka ka mukenenya nga tekalabika, kitegeeza nti taba mulamu kyokka wabula era aba tasobola kusiiga muntu mulala kawuka kano. Ekyo kyekitegeeza okuba nga tekalabika era nga tasiiga (Undetectable = Untransmittable).
Kino kinene nnyo mubyafaayo bya Mukenenya kubanga kiraga nti omuntu alina akawuka nga tekalabika talina kwelalikirira nti asobola okukasiiga eri abo beyegatta nabo. Okukolagana n’abantu abalina akawuka yemu kungeri gyetuyinza okulaba nga tumalawo mukenenya nga bamira eddagala lyabwe buli lunaku okusobola okusigala nga balamu.
Ebisingawo bisange wano UequalsU.org oba ku Building Healthy Online Communities omanye obubaka agasingawo.
Mukenenya Kye kki ?
Mukenenya ke kawuka akagonza abasirikale b’omumubiri era nga kazibuwazza omubiri okusigala nga mulamu. Akawuka kano bwekeyongera obungi mu mubiri kaleetera omuntu okufuna obulwadde obulala ekivirako omuntu okufuna obwalwadde bwa Mukenenya.
Wabula ekirungi kiri inti obujjanjabi obulungi jyebuli okulabika nti abasirikale bbo ab’omumubiri basigala nga bakyalina amaanyi. Omuntu bwatandikirawo eddagala mu bwangu era nalisigaako, akawuka ka mukenenya aba asobola okukaka-kanya. Bingi ebitukiddwako era nga n’ebirala bingi bikyatukirwako. Enaku zzino abantu abalina akawuka balina essuubi okubeera n’obulamu obulungi nga bawangala singa baba batandiikiddewo eddagala era nga balimira buli kadde.
Kebeera wano olabe akatambi okuva mu Greater Than AIDS okumanya ebisingawo.
Kki ekinteeka mu buzibu okufuna mukenenya?
Tewali bukakafu bumannyiddwa nti omuntu asobola okufuna akawuka akaleeta mukenenya nga annwegera mune, okukomba mune wansi oba nga yemazisa yekka. Okukomba munno akasolo, okwegata nga gwe ali kungulu oba nga gwe ali wansi byonna bilina emikisa mitono nnyo okukufunyisa akawuka singa muba mukozesezza akapiira . Oli bwaba nga yali waggulu nga yakola munne nga talina condom alina emikisa minene kko okufuna akawuka, atte oli ali wansi nga alina emikisa minene nnyo ddala okufuna akawuka.
Kino kikola ku mukenenya yekka wabula ssi kundwadde endala ez’obukaba nga enziku oba omusujja gw’ekibumba.
Nsobola okufuna akawuka aleeta mukenenya mukukombagana?
Kizibu okufuna akawuka akaleeta mukenenya nga kayita mukukombagana nga bwekyandibadde mukwegatta nga tukozesa ebitundu ebyekyaama nnaddala ali abasajja ab’egatta ne basajja banabwe nga bakozeas wansi. Wabula era oli asobola okufuna akawuka kano singa aba nn’ambwa mukamwa. Waliwo obukakafu buno naye nga ssikyabulijjo.
Okufuna ebisingawo laba wano this resource.
PrEP kyekki?
PrEP y’emu kunkola empya era ekakasiziddwa mukulwanyisa endwadde ya mukenenya. Lino lyeddagala omuntu lyamira okusobola okuziyiza okukwatibwa akawuka akaleeta mukenenya singa omuntu oyo abadde mu mbeera eyinza okumuleetera okufuna akawuka kano. Wabula PrEP taziyiza muntu kufuna bulwadde bulala obw’ekikaba.
Esaawa eno empeke yokka ekakaziddwa okuziyiza akawuka aleeta mukenenya bajiyita Truvada, era eno bajimira bumizi buli lunaku. Truvada kati akozebwa abo abantu abatanafuna kawuka kaleeta mukenenya nga enkola ya PrEP munsi ezimu naye nga ejja kutusibwa munsi zonna.
Laba wano ninety second video okuva mu Greater Than AIDS.
Enkola ya PrEP jyeri mu ggwanga lyange?
Truvada yakolebwa kulwanyisa akawuka mu bantu abo abalina mukenenya, naye kati tukimanyi nti n’abo abantu abatalina kawuka basobola okulikozesa okwewala okufuna akawuka singa baba mu mbeera eyinza okubaleetera okufuna akawuka kano. Ekitongole kya America ekya Food and Drug Administration kyakakasa enkola ya PrEP mu mawanga nga Peru, France, South Africa, Kenya, Israel ne Canada.
Wabula era waliwo amawanga amalala nga Thailand ne Brazil enkola eno eya PrEP jyeli naye nga bajigezesa mu matundiro ge ddagala. Era mu bifo bingi, abalwanyirizi b’eddembe basaba esobole okutwalibwa yo okulaba nga abantu bajikozesa naye nga okusaba kwabwe tekunaddibwamu.
Laba wano PrEP Watch okuva munsi ez'enjawulo
Bwoba oli mu Amerika, laba wano webasanga PrEP here
Bwoba oli mu Bungereza laba wano webasanga PrEP here
Mu Amerika nsobola ntya okusasula PrEP?
Gilead ye kampuni ekola Truvada, ekika kya PrEP ekisangibwa mu Amerika. Gilead okusobola okutuusa enkola eno ku bantu eyita mu kampuni za yinsuwa, obugabirizi obwenjawulo naddala eri abo abalina obuzibu mu byenfuna okusobola okufuna PrEP.
Osobola okubakubirako nga oyita ku ssimu eno 1-800-226-2056 wakati wa saawa Ssatu (3) ez'okumakya ne Saawa Bbiri (2) ez'akawungeezi laba wano Ebisingawo click here.
PEP kye kki?
PEP kitegeeza obujjanjabi obw’amangu obuweebwa omuntu okusobola okuziyiza okukwatibwa akawuka akaleeta mukenenya singa omuntu oyo abadde mu mbeera eyinza okumuleetera akawuka kano. Obutabanga PrEP emirwa omuntu atalina kawuka nga tanagenda mu mbeera emusobozesa okufuna akawuka, PEP emirwa nga oli amazze okugenda mumbeera emuleetera akawuka ka mukenenya era nga eyambako okiziyiza akawuka okuzaala obuwuuka obungi era nga takanafuula mubiri maka gaako.
Laba wano ninety second video okuva mu Greater Than AIDS.
Kitegeeza kki okuba nga akawuka tekalabika?
Omuntu alina akawuka okubeera nga akawuka ako tekalabika mu mubiri kitegeeza nti amira bulungi eddagala lye ekireetera akawuka okubeera nga tekakyalina maanyi era tekakyalabika mu mubiri gwe. Kino era kitegeeza nti omuntu oyo n’ebwagenda okumukebera omusaayi akawuka baba tebasobola kukalaba mu sampo y’omusaayi gwe.
Sayansi akakasiza nti omuntu alina akawuka ka mukenenya nga tekalabika, kitegeeza nti taba mulamu kyokka wabula era aba tasobola kusiiga muntu mulala kawuka kano.
Akawuka kajja kusigala nga tekalabika singa omuntu oyo asigala nga amira eddagala lye nga bweyagambibwa.
Okuba nga akawuka tekalabika mu mubiri tekitegeeza nti omuntu aba awonye mukenenya, naye y’emu kungeri eyokuziyizamu mukenenya.
Abantu abamu abalina akawuka nga kakyalabika mu musaayi oba nga nga akawuka kakyali kangi mu musaayi gwaabwe basobola okuziyiza mukenenya nga bakozesa obupiira n’abagalwa baabwe oba nga abagalwa baabwe bakozesa enkola ya PrEP.
Laba wano TheBody oba www.UequalsU.org okumanya ebisingawo.
Ddi abantu abalina mukenenya lwe baddayo okukebera obungi bwa kawuka mu musaayi gwaabwe?
Abantu abalina mukenenya bulijjo bamanya obungi bwa kawuka mu mubiri gwabwe nga bakatandiika okufuna obujjanjabi okuva eri omusawo, era nga omusawo oyo yalina okubalambika engeri jyebalina okudda okukeberwa obungi bwa kawuka mu mubiri gwaabwe.
Wabula bwekikakasibwa nti akawuka tekakyasobola kulabibwa mu mubiri, kisubirwa nti omuntu oyo alina okuddamu okukebera obungi bwa kawuka buli luvanyuma lwa myezi mukaga.
Laba Wano HIV.gov omanye ebisingawo.
Obujjanjabi bwa Mukenenya oba PrEP bulina engeri jyebukosamu ekikula kyabo abantu abakyuusa obutonde bwaabwe ?
Tekiri nti buli muntu ayagala okukyusa obutonde bwe akozesa ddagala okufuka ekyo kyali, yadde nga abasinga bakozesa eddagala eryokukyusa obutonde bwabwe. Tewali kunonyereza kulaga nti waliwo engeri obutonde bw’omuntu jyebukosebwamu nga akozesa enkola ya PrEP.
Laba wano ninety second video okuva mu Greater Than AIDS.
Kisanidde omusawo wange okumanya nti n’egatta n’abantu b’ekikula kyange oba okumanya ekikula kyange?
Ekibuuzo kino kizibu nnyo kuddamu, naye eri abantu abamu kiyinza okuba nga ssikyangu okweyanjula eri omusawo naddala mu mawanga agatakiriza mukwano gwa bantu ab’ekikula ekimu kubanga tewali bukakafu nti omusawo anaba n’emizzi olw’ebyo ebimugambiddwa olwokuba eteeka terikiriza mukwano gwa kika ekyo.
Wabula, bwetuba tusobola okwesiga abo abatuwa obujjanjabi, nabo basobola okutufako obulungi. Bwetuba tusobola okwogera them ku by’ekikula kyo n’engeri jyewegattamu n’abantu mu by’omukwano nabo kibasobozesa okukuwa obujjanjabi obwo bwennyini bwewetaaga okusigala nga oli mulamu.
Jjukira nti olina okuba n’obukugu nga ogenda okulaba omusawo mu kasenge naddala nga muli mwembi era nga tewali kiyinza kukuswaaza. Singa omusawo agezaako okukugamba nti okwegatta n’omuntu ow’ekikula ekimu nti kibi, mugambe n’obuwombeffu nti oyagala kwogera ku ddagala lyokka lye wetaaga.
Laba wano ninety second video okuva mu Greater Than AIDS.
Wwa wenyinza okwekeberezza akawuka akaleeta mukenenya oba endwadde ez’ekikaba?
Bwoba oli Bungereza, laba wano ku mukutu guno here.
Bwoba oli mu Amerika laba wano CDC’s testing site locator okusobola okulaba woofunira obukebera.
Abali munsi endala zonna mulabe wano AIDSMap.com’s HIV Test Finder.
Ddi lw’enina okwekebezza akawuka akaleeta mukenenya oba endwadde ez’ekikaba?
CDC egamba nti eri abasajja abagala basajja banaabwe awamu n’abo atte abegatta n’abakyala nga balina abantu bangi bebegatta nabo kyandibadde kirungi okwekebezza endwadde z’ekikaba awamu na kawuka akaleeta mukenenya buli luvanyuma lwa myezi essatu oba mukaaga. Okusinzira ku muwendo gwa bantu bewegatta nabo awamu n’engeri gyemwegattamu oyinza okusalawo okwekebezza gwe nga omuntu buli luvanyuma lwa myezzi essatu.
Olw’okusobola okufuna okukeberwa okulungi, kyandibadde kirungi buli kintu kya mubiri kyokozesa mu kwegatta okukikebezza. Bwemuba nga mukozesa omumwa gwamwe okwesanyusa munsonga ez’okwegatta kyandibadde kirungi ne bakukebera akamwa nga bakozeza ka akawelo. Bwoba nga gwe gwebakozesa oba nga bakukomba wansi saba nako akantu akakozebwa okukeberebwa wansi eyo. Ebintundu byo eby’ekyama basobola okubikebera nga bakozesa omusulo gwo.
Laba wano ninety second video okuva mu Greater Than AIDS.
Kikki kyenina okusaba okulaba nga nfuna okukeberebwa endwadde eze’kikaba?
Okuddamu ekibuuzo kino kisinzira kungeri jyewegattamu muby’omukwano. Omusawo bulijjo ajja kukebera akawuka akaleeta mukenenya nga akujjako omusaayi oba endwadde ez ‘ekikaba nga akozesa sampo y’omusulo gwo. Bwoba okozesa omumwa gwo mukwegatta olina okukakasa nga omusawo akozesa akawelo akaweweevu okulaba nga anoonya akebera endwadde ez’ekikaba. Atte bwoba nga gwe gwebakozesa wansi, olina okukakasa nga omusawo akozesa akawelo akaweweevu okukukebera eyo wansi mu kabina.
Kirungi nnyo okukeberebwa omusujja gw’ekibumba wakiri omulundi gumu ebika byonna naddala nga olina akawuka ka mukenenya.
Laba wano ninety second video okuva mu Greater Than AIDS.
Okukkiriziganya kye kki?
Okukkirizaganya y’endagano etukiddwako wakati wo n’abantu abalala nga eraga ekyo kyoyagala mukole mwena. Okukkiriziganya kintu kyabulijjo okukola, okugeza oyinza okwebuuza ku mukozi munno oba kyandisanidde omugweko mukifuba oba okubuuza oyo gwo’sisinkanye ku mitimabagano kki kyeyandyagadde mu mbeera y’okwegatta.
Bwekituuka mu mbeera ey’okwegatta, okukkiriziganya kiyamba buli omu okufuna ekyo kyayagala nga tafunye buzibu bwonna. Okukkiriziganya kitegeeza kuba mweruffu mu kwogera era nga kibaawo mumitendera ebiri – okufuna n’okuweebwa.
Okufuna kitegeeza nti omwagalwa wo akukakasiza nti ekikolwa tekirinamu buzibu era anti annyumira byemukola. Kino kiyinza okukolebwa mungeri nga okumubuuza nti ‘Nnyinza okukujjamu essaati?’ oba okumusaba nti ‘nkusaba kukunwegera kko, onakyagala?’ Okukwatagana ne munno mungeri y’okukkiriziganya kiraga nti omumanyi bulungi era anti omuwangana ekitiibwa mwembi.
Okkukiriziganya kiyamba okutegeeza munno nti onnyumirwa byonna byemuli mukukola. Omuntu ayinza okulaga nti akkiriziganyinza ne munne nga ayatula nakamwa kke nti ‘Ye’ era n’engeri endala yadde aba nga tayatudde na kamwa kke nga akola ebyo ebiraga munne nti annyumirwa ebyo byali mukumukola.
Wabula olina okujjukira nti olusi okkirizaganya kuyinza okukyuuka naddala singa muba mu kkiriziganyiza gamba ku mikuttu gimugatta bantu wabula mukusisinkana atte ebintu n’ebikyuukamu. Osobola okukyuusa ebirowoozo byo obudde bwonna, eky’okuba nti okkiriziganyiza okukola ekintu n’omuntu ku mikuttu gimugatta bantu tekitegeeza nti kikukakatakko okukituukiriza nga musisinkanye mu buntu. Ekyo bwekibaawo kisanidde mwembi okuwangana ekitiibwa n’okuwulira obulungi mwebyo byemuba musazeewo okukola.
Laba wano this video from Planned Parenthood okumanya ebisingao. Era This list okuva mu Teen Vogue ekulaga engeri y'okwogerezeganyamu mu kusobola okukiriziganya.
Ntegeeza ntya omwagalwa wange nti nfunye obulwadde bw’ekikaba?
Okwekebezza nga ofune obulwadde bw’ekikaba kitawanya nnyo obwongo, naye kigwanidde mukiseera ekyo okwezaamu amaanyi mu mubiri ne mu bwongo bwo.
Engeri emu eyo kweddabiriza kwekwogerako n’abantu abamu abasobola okukubuddabudda, osanidde okufuna abantu bewesiga mu bulamu bwo nga osobola okubabulira ku mbeera yo bweyimiridde okukusobozesa okubeera nga toli wekka mu mbeera eyo nga bwofuna obujjanjabi.
Nga bwosobola okweyamba okwebuddabudda muby’obulamu bwo naddala nga wakafuna ebiraga nti olina obulwadde bwekikaba, osanidde okulaba nga n’abo abagalwa bbo b’ewegatta nabo nga obagamba nti bandiba nabo bafuna obulwadde obwo. Bw’obagamba bwotyo kitegeeza nti nabo basobola okugenda okwekebezza n’okufuna obujjanjabi mu bwangu mbakirawo.
Tewali ngeri nnungamu jyoyinza kugamba mwagalawo oba abagalwa bo nti balina okugenda okwekebezza oba okufuna obujjanjabi. Mu kino osobola okubategeeza nga obakubira amasimu oba nga obaweereza obubaka ku ssimu oba okubagamba butereevu nga musisinkanye. Olusi kiswaaza okugamba omwagalwa wo nti wafunye enddwadde y’ekikaba era nga ekyo kiyinza okukuteeka mu mbeera etali nnungi. Osobola okukozeas enkola eno eya partner notification site wabula kiri jyooli okutegeeza oba obutamutegeeza.
Nkolaki eyinza okuyamba abo abakyuusa enkula yaabwe obutafuna lubuto?
Obutafuna lubuto kiyinza okuziyizibwa mungeri nnyingi nnyo okugeza nga okukozesa obupiira, okumira empeke awamu enkola endala eza kizaala gumba. Eri abantu abamu abakyuusa enkula yaabwe, okulowooza kubyokufuna olubuto oluusi kibaleetera obuteyagalira mw’ekyo kyebali, naye kirungi okuba nga oli mwetegeffu kungeri gyosobola okuziyizaamu okufuna olubuto.
Okwekebezza olubuto, okwogera n’omwagalwa wo kuby’okufuna olubuto, okugezaako okuziyiza obutafuna lubuto kiyinza okuba ekizibu olwengo eziwerako, naye atte okukikola kiyambako okukusobozesa okufaayo ku by’obulamu bwo.
Bwoba omira empeke ezikuyamba mukukyuusa enkula yo, oba nga olina by’okozesa kizibuwaza okwetangira obutafuna lubuto. Bwoba welarikirira nti okuziyiza obutafuna lubuto kirina bwekiyinza okutawaanya enkola yo ey’okwefuula ekyo kyoyagala obeere, gezaako ku nkola eya Planned Parenthood’s list oba nga ojyekengedde yogerako n’omusawo asobola okukuyambako okukulungamya kku nkola ekusanidde.
Okusobola kufuna amagezi kungeri yókwegatta ennungi laba wano Safer Sex for Trans Bodies.
Nsobola okwekebezza akawuka akaleeta mukenenya nga ndi waka?
Bwoba nga ogenda mu bikolwa ebyokwegatta, okwekebezza akawuka akaleeta mukenenya yemu kunkola yokka jyoyinza okumanyamu bwoyimiridde muby’obulamu bwo. Wabula kiyinza obutakwanguyira okufuna eddwaliro kubanga oyinza okwelalikirira olw’ebyama byo oba obukuumi bwo mungeri yonna eyokwekebezza akawuka akaleeta mukenenya.
Mu bifo ebimu kisobokka okufuna ebikozebwa mu kwekeebezza akawuka akaleeta mukenenya nga oli waka wo. Wabula enkola ey’okwekebezza eyinza okuba nga tetukiridde nnyo nga eyo jyebakoledde mu ddwaliro yadde nga nnungi essinga obutekeberezza ddala. Bwewaba nga waliwo ensonga yonna ekweberera okwekeberezza mu ddwaliro, oyinza okwebereza nga oli waka kuba kino kisingako.
Okwekebereza awaka akawuka akaleeta mukenenya kitwala enaku 23 ku 90 okusobola okulaba akawuka ka mukenenya. Mu kiseera ekyo kisobokka kiyinza okukulaga nti tolina kawuka naye nga ddala oyinza okuba nga olina akawuka akaleeta mukenenya. N’olwenga eyo kyandibadde kirungi okwekebeza wakati w’ebbanga eryo okumanya ekituffu ekikwata ku bulamu bwo. Ebintu ebkozebwa mu kukukebera bijja kukutegeeza akawuka akaleeta mukenenya wabayinza okukalabira. Bw’omanya nti kiyinzika okuba nga wetadde mu mbeera eyinza okukuleetera akawuka mu saawa 72, yogerako n’omusawo okulaba nga asobola okukuwa eddaggala eriziyiza (post-exposure prophylaxis) akawuka mu bwangu ddala.
Waliwo engeri biri zokka gy’oyinza okwekebezaamu akawuka akaleeta mukenenya nga oli waka, emu ku ngeri zino kwekuli okukozesa akawelo akaweweevu nga oteekako amalusu okulaba nga ofunirawo ebikwata ku bulamu bwo. Enkola endala yeeyo ey’okufuna sampo y’omusaayi n’olyokka oguwerezza jyebakeberera omusaayi okulaba nga bagukebera. Naye enkola ya ‘Building Healthy Online communities’ erina obubaka bungi obukwatagana ku nkola zino zombi.
Ku saawa eno, obukebeza awaka webuli mu Bulaaya ne Amerika. Manya nkola kki eyo'kwekebezza awaka ekusanidde wano (here).
Bw’emba sirina bikozesebwa mu kwegatta gamba nga obupiira, ebizigo ebiseerera oba ebintu ebikolerere mu kwegatta, nnyinza kukozesa kki?
Olina ensonga nnyinji lwaki wandyadagadde okufuna ebintu ebikolerere mu kwegatta, ebizigo ebiseerera oba ebiziyiza akawuka. Kiyinza obutakwanguyira kufuna bintu bino naddala nga okyasula waka mwe oba nga awantu wooli bayinza okubiraba nebategeera kyooli, oba oyinza okuba nga wakyuusa ekikulakyo nga tosobola kufuna ebyo ebiziyiza naddala nga tebikwatagana na kikula kyo naddala mu kwegatta.
Mu buli mbeera, kisanidde okukozesa ebintu ebyo ebirina okukozesebwa olwómugaso gwábyo. Naye nga mu byonna okukozeasa obupiira yénkola esinga okwesigika naye nga yadde waliwo enkola endala
Okukozesa ebintu ebikolerere mu kwegatta.
Waliyo ebintu ebikolerere byoyinza okukozesa awaka gamba nga obusolo bwa basajja, ekitwe kya kasolo ka basajja oba ebirala ebiyinza okukuyambako mu kwegatta, wabula osanidde omanye engeri jyoyinza okulaba nga tebikutusaako buzibu bwonna naddala nga obikozesa ebyo byebitalina kukola.
Bwoba okozesa ebintu ebikolerere gamba nga obusolo bwa basajja mu kwegatta osanidde okuteekako akapiira okulaba nga oziyiza endwadde. Abamu bakozesa ebintu ebirime gamba nga biringanya, naye bino olususu lwabyo lukaluba nnyo nga biyinza okukuleeta obutuli mu kapiira ekiyinza okukuviira okufuna endwadde. Bwoba okozesa akasolo akakolerere fuba nnyo okulaba nga kalina wookwata naddala kuntobo yako okusobola okulaba nga tekalemera wansi wo munda.
Oluusi oyinza okukozesa ebintu ebikankana ebikozesa amasanyalaze mu kwegatta naye osanidde osooke okakase oba nga tebigendako mazzi, kiba kirungi nnyo okukozesa obupiira nga okozesa ebintu bino naddala nga obikozesa ku bitundu ebiri ebyoukungulu eby’omubiri gwo.
EKitwe kya kasolo k’omusajja kiyinza nakyo okubajibwa okuva mu bintu by’omanyi eby’enjawulo, osobola okujjako ekiweeta kya pulasitika okusobola okuteekako condomu ku kitwe ekyo, wabula ekitwe kirina okukozesebwa mu banga tono nnyo era nga kirina okukolebwa mu bintu ebitali bikalubo nnyo nga osobola okukijamu yadde nga obadde oyimye. Bwoba otandiise okuwulira obubi oba nga kirina engeri jyekikosezaamu osobola okukyejamu amangu ddala, bwoba tosobola kukyejamu genda mu ddwaliro ofune obujjanjabi mumbagirawo.
Ebintu ebimu gamba nga obutto kwetuteeka emitwe nga twebase, sitokisi biyinza okukozesebwa mu kwemazisa, engoye oba zzi ppini ziyinza okukozesebwa ku nwaanto z’amabeere ggo, emisippi, oba ebintu ebimu ebibajje biyinza okukozesebwa mu kufuna essanyu, wabula osanidde obe nga omanyi obuzibu obuyinza okubivaamu nga obikozesa nga oteekawo ebintu ebiyinza okukeendeza obuzibu obwo.
Mukugezaako okukendeeza obuzibu obwandibivuddemu, wewale nnyo okukozesa ebintu ebisoongovu oba eby’amasanyalaze munda mugwe, fuba okuteekangako akapiira era wewale okukozesa ebintu ebinafu kuba biyiinza okukutukira munda yo.
Bw’oba tolina bizigo biseerera okola otya?
Ebizigo ebiseerera birungi nnyo mu kwegatta kubanga kiwa abagalana essanyu awamu n’okukendeeza emikisa jy’okufuna endwadde z’obukaba. Bw’oba tosobola kufuna bizigo bino waliwo engeri nnyinji nnyo era nga mwemuli okukozesa amalusu awamu n’ebintu ebirala bingi (here).
Bw’oba okozesa obupiira okuziyiza endwadde z’ekikaba oba okuziyiza embuto, ebizigo ebiseerera tebilina kuberamu muzigo kubanga omuzigo guyinza okuyuza akapiira oba enkola obutakola bulungi.
Okufuna ebisingawo ku bizigo ebiseerera awamu n’engeri endala genda wano ku mukutu gunno ‘Center for Sexual Pleasure & Health’s Guide to Lube’ wano (here).
Ebiziyiza okufuna endwadde ez’obukaba oba embuto
Kizibu nnyo okufuna ebiziyiza okufuna endwadde ez’obukaba oba embuto z’emutetegekedde nga okukozesa akapiira. Tewali nkola ndala yonna okujako enkola ya akapiira.
Okukozesa obuveera oba empapula ssi kirungi kubikozesa nga akapiira mu kwegatta kubanga omugaso gwa akapiira kwekulaba nga amazzi g’ekisajja gasigala munda mu kapiira n’olwensonga eyo ebintu ebyo okubikozesa awamu n’akapiira ssi kirungi kuba kiyinza obutakuyamba kuziyiza ndwadde ez’obukaba oba okufuna embuto ze mutetegekedde.
Wabula oyinza okukozesa roll-on condom, latex/latex free gloves oba non-microwave plastic wrap okusobola okubiika wansi wo nga bakunuunayo. Wabula osanidde omanyi nti okukozesa ebintu bya pulasitika biyinza okukuviiramu obulabe
Wabula osanidde omanyi nti wadde enkola ezo zonna weziri, naye tezisobola kukozebwa nga kodom okusobola okuziyiza enddwadde zóbukabaoba okufuna olubuto.
Bw’oba nga olina ekibuuzo kyonna kubikwata ku nti nkola y’okukozesa ebintu ebikolerere mu kwegatta , oba ebizigo ebiseerera oba enkola yonna eziyiza okufuna obulwadde bw’ekikaba n’embuto zemutetegedde, osobola okwogerako naffe mu ku mukutu gunno ‘Planned Parenthood health educators.’