Ekibuuzo kino kizibu nnyo kuddamu, naye eri abantu abamu kiyinza okuba nga ssikyangu okweyanjula eri omusawo naddala mu mawanga agatakiriza mukwano gwa bantu ab’ekikula ekimu kubanga tewali bukakafu nti omusawo anaba n’emizzi olw’ebyo ebimugambiddwa olwokuba eteeka terikiriza mukwano gwa kika ekyo.
Wabula, bwetuba tusobola okwesiga abo abatuwa obujjanjabi, nabo basobola okutufako obulungi. Bwetuba tusobola okwogera them ku by’ekikula kyo n’engeri jyewegattamu n’abantu mu by’omukwano nabo kibasobozesa okukuwa obujjanjabi obwo bwennyini bwewetaaga okusigala nga oli mulamu.
Jjukira nti olina okuba n’obukugu nga ogenda okulaba omusawo mu kasenge naddala nga muli mwembi era nga tewali kiyinza kukuswaaza. Singa omusawo agezaako okukugamba nti okwegatta n’omuntu ow’ekikula ekimu nti kibi, mugambe n’obuwombeffu nti oyagala kwogera ku ddagala lyokka lye wetaaga.
Laba wano ninety second video okuva mu Greater Than AIDS.