Sayansi akakasiza nti omuntu yenna alina akawuka ka mukenenya nga tekalabika, kitegeeza nti taba mulamu kyokka wabula era aba tasobola kusiiga muntu mulala kawuka kano. Ekyo kyekitegeeza okuba nga tekalabika era nga tasiiga (Undetectable = Untransmittable).
Kino kinene nnyo mubyafaayo bya Mukenenya kubanga kiraga nti omuntu alina akawuka nga tekalabika talina kwelalikirira nti asobola okukasiiga eri abo beyegatta nabo. Okukolagana n’abantu abalina akawuka yemu kungeri gyetuyinza okulaba nga tumalawo mukenenya nga bamira eddagala lyabwe buli lunaku okusobola okusigala nga balamu.
Ebisingawo bisange wano UequalsU.org oba ku Building Healthy Online Communities omanye obubaka agasingawo.
Comments
0 comments
Article is closed for comments.