Okukkirizaganya y’endagano etukiddwako wakati wo n’abantu abalala nga eraga ekyo kyoyagala mukole mwena. Okukkiriziganya kintu kyabulijjo okukola, okugeza oyinza okwebuuza ku mukozi munno oba kyandisanidde omugweko mukifuba oba okubuuza oyo gwo’sisinkanye ku mitimabagano kki kyeyandyagadde mu mbeera y’okwegatta.
Bwekituuka mu mbeera ey’okwegatta, okukkiriziganya kiyamba buli omu okufuna ekyo kyayagala nga tafunye buzibu bwonna. Okukkiriziganya kitegeeza kuba mweruffu mu kwogera era nga kibaawo mumitendera ebiri – okufuna n’okuweebwa.
Okufuna kitegeeza nti omwagalwa wo akukakasiza nti ekikolwa tekirinamu buzibu era anti annyumira byemukola. Kino kiyinza okukolebwa mungeri nga okumubuuza nti ‘Nnyinza okukujjamu essaati?’ oba okumusaba nti ‘nkusaba kukunwegera kko, onakyagala?’ Okukwatagana ne munno mungeri y’okukkiriziganya kiraga nti omumanyi bulungi era anti omuwangana ekitiibwa mwembi.
Okkukiriziganya kiyamba okutegeeza munno nti onnyumirwa byonna byemuli mukukola. Omuntu ayinza okulaga nti akkiriziganyinza ne munne nga ayatula nakamwa kke nti ‘Ye’ era n’engeri endala yadde aba nga tayatudde na kamwa kke nga akola ebyo ebiraga munne nti annyumirwa ebyo byali mukumukola.
Wabula olina okujjukira nti olusi okkirizaganya kuyinza okukyuuka naddala singa muba mu kkiriziganyiza gamba ku mikuttu gimugatta bantu wabula mukusisinkana atte ebintu n’ebikyuukamu. Osobola okukyuusa ebirowoozo byo obudde bwonna, eky’okuba nti okkiriziganyiza okukola ekintu n’omuntu ku mikuttu gimugatta bantu tekitegeeza nti kikukakatakko okukituukiriza nga musisinkanye mu buntu. Ekyo bwekibaawo kisanidde mwembi okuwangana ekitiibwa n’okuwulira obulungi mwebyo byemuba musazeewo okukola.
Laba wano this video from Planned Parenthood okumanya ebisingao. Era This list okuva mu Teen Vogue ekulaga engeri y'okwogerezeganyamu mu kusobola okukiriziganya.