CDC egamba nti eri abasajja abagala basajja banaabwe awamu n’abo atte abegatta n’abakyala nga balina abantu bangi bebegatta nabo kyandibadde kirungi okwekebezza endwadde z’ekikaba awamu na kawuka akaleeta mukenenya buli luvanyuma lwa myezi essatu oba mukaaga. Okusinzira ku muwendo gwa bantu bewegatta nabo awamu n’engeri gyemwegattamu oyinza okusalawo okwekebezza gwe nga omuntu buli luvanyuma lwa myezzi essatu.
Olw’okusobola okufuna okukeberwa okulungi, kyandibadde kirungi buli kintu kya mubiri kyokozesa mu kwegatta okukikebezza. Bwemuba nga mukozesa omumwa gwamwe okwesanyusa munsonga ez’okwegatta kyandibadde kirungi ne bakukebera akamwa nga bakozeza ka akawelo. Bwoba nga gwe gwebakozesa oba nga bakukomba wansi saba nako akantu akakozebwa okukeberebwa wansi eyo. Ebintundu byo eby’ekyama basobola okubikebera nga bakozesa omusulo gwo.
Laba wano ninety second video okuva mu Greater Than AIDS.